Kyaddaki Godfrey ‘Troy’ Wamala eyakwatibwa ku by’okutta omuyimbi Moses Ssekibogo amanyikiddwa nga Radio awadde obujjulizi ku ngeri gye yattibwamu.

Troy yabadde mu kkooti enkulu Entebbe wansi w’omulamuzi Jane Francis Abodo olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga era yawadde obujjulizi obwalese abaabadde mu kkooti nga banyeenya mitwe ng’abenganda bali mu maziga.

Mu kkooti, Troy yagambye nti “nga 22, January, 2018, Radio yatuuka mu bbaala ya De Bar wakati w’essaawa 10 ne 11, bwe yayingira, yatandikirawo okunyumya ne manejja w’ebbaala George Egesa. Oluvanyuma mukwano gwa Radio, Pamela Musimire yampita (Troy) okubegattako“.

Troy era agambye nti, musooka yali agaanye okubegattako ng’ali mu kuzannya ‘Pool Table’ ne bawusa w’ebbaala omulala kyokka oluvanyuma yabegatako.

Wakati mu kunyumya, “Radio yali atamidde nnyo kwekutandika okusaba Egesa eky’okunywa. Egesa yayita weyita eyaleeta eccuupa ya ‘whisky’ nga yali yakitundu. Amangu ddala Radio yakwata omwenge kwekutandiika okuyiira ffeena abaali ku mmeeza“.

Troy era agamba nti, “okulwana wakati wa Radio ne Egesa kwatandikirawo olwa Radio okumuyiira omwenge era amangu ddala nayanguwa okuyimiriza olutalo“.

Abantu batandiika okung’aana era Egesa yayita ba bawusa okufulumya Radio mu bbaala. Radio yafulumizibwa kyokka yeyongera okulwana n’abantu abalala babiri (2) ng’ali bweru“. Troy ng’ali mu kkooti.

Troy agamba nti teyategeera bantu abaali bakubagana ne Radio kuba yali alina okusisinkana akulira Poliisi y’e Katabi.

Mu kkooti, oludda oluwaabi lwaleeta abajjulizi 10 nga bonna balumiriza Troy okutta Radio.

Omusango gwo, guddamu okuwulirwa nga 23, October, 2019.

Maama wa Moze, Jane Kasubo, aba famire ne mikwano gy’omugenzi okwabadde omuyimbi Chagga, beetabye mu lutuula lwa kkooti luno olwajjumbiddwa ennyo nga kkooti yakubyeko n’ebooga.
Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Joan Keko lugamba nti nga 22, January, 2018 ku bbaala ya De Bar e Ntebe, Troy yakozesa bubi obuyinza bwe n’atuusa obuvune obw’amaanyi ku muyimbi Moze ekyamuviirako okufiira mu ddwaaliro lya Case Hospital nga 1, February, 2018.