Kyaddaki kkooti e Masaka eyimbudde omubaka we Lwemiyaga, Theodore Ssekikubo, eyakwatibwa sabiti ewedde ku Lwokutaano ku misango gy’okusangibwa n’emmundu ssaako n’okukuma omuliro mu bantu.

Omulamuzi wa kkooti e Masaka Deogratius Ssejjemba, ayimbudde Ssekikubo ku bukadde 10 ezitali za buliwo n’obukadde 25 buli omu, ezitali za buliwo ku bantu 5 abamweyimiridde okuli omubaka Barnabas Tinkansimire, Anifa Kawooya, Mary Kabanda, Florence Namayanja ne Kansala we Lwemiyaga, Johnstone Kamugisha.

Ssekikubo yaguddwako emisango ku bigambibwa nti mu gwomunaana, 2010 yalina emmundu mu ngeri emenya amateeka, yalemesa abasirikale okutambuza emirimu gyabwe, okwonoona ebintu by’ekibiina ki NRM mu kamyufu ka NRM e Sembabule.

Emisango gyonna yagyegaanye era bannamateeka be nga bakulembeddwamu OMUBAKA WE Busiro East Medard Lubega Ssegona baasabye omulamuzi okuyimbula omuntu waabwe kakalu ka kkooti.

Wabula oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Amina Akasa lwasabye omulamuzi obutayimbula Ssekikubo kuba asukkiridde okugyemera amateeka kyokka alemeddwa okumatiza kkooti ku nsonga eyo.

Omulamuzi Ssejjemba mu kuwa ensala ye, agambye nti Ssekikubo aleese abantu abagwanidde okuteeka mu nkola okusaba kwe, okweyimirirwa era amulagidde okudda mu kkooti, nga 18, omwezi ogujja Ogwokubiri.

Oluvudde mu kkooti ng’ayimbuddwa, Ssekikubo atabukidde Minisita w’obutebenkevu Gen. Elly Tumwine okwenyigira mu nsonga z’okumusibya.

Ssekikubo agamba nti Minisita Tumwine alina akatale mu bitundu bye Kyemamba mu ggombolola y’e Mpumudde mu disitulikiti y’e Lyantonde ng’emu ku nsonga lwaki, yakulemberamu okuteeka envumbo ku balunzi b’ente mu kitundu kye, ng’abagamba nti ente zirina ekirwadde kya Kalusu n’ekigendererwa eky’okulemesa abalunzi okwetaaya.

Eddoboozi lya Ssekikubo