Mukyala wa Pasita Aloysius Bugingo owa House of Prayer Ministries International, Suzan Makula avuddeyo ku bigambibwa nti bba yamugulidde kapyata y’emmotoka ekika kya Range Rover Sport  nga bali mu ggwanga erya South Africa.

Ekyaleetedde abantu mu Uganda okulowooza nti Bugingo yatonedde Makula emmotoka kyavudde ku Pasita ne mukyala we okubeera nga mu kiseera emmotoka we yafulumidde bombi baabadde mu South Afrika nga n’emmotoka ekutte akati ku mikutu gya yintaneeti n’okusingira ddala ogwa Face Book.

Mmotoka eno yasibiddwaako obuwero obumyufu obulaga laavu kyokka Makula agamba nti kyabadde kirabo kya bba Pasita Bugingo.

Makula agamba nti, “Waliwo omwami atayagala kwogera mannya ge, yava mu Uganda era yali blessed nnyo n’enjiri ya muzeeyi kati yategeddeko nti muzeeyi ali mu South Africa ng’ayagala kuddamu kumusabirako era bwe yazze, yaze n’ekirabo kya muzeeyi kya mmotoka, “Range Rover nga kye kirabo ky’ayagala okuwa muzeeyi. Muzeeyi yakirizza ekirabo ate twetwagala kugitunda kuba kirabo kati mu South Africa abaana betumanyi ababerayo ng’abaana balokole aba New Chapter abayimbi ba Gosple ate bakoze ebirungi bingi omuli n’okuzimba essomero era Pasita yabayise nabategeeza nti alina ekirabo kyabwe olw’okuwereza Katonda era yabawadde Range Rover eyamuwereddwa okusobola okwongera okuwereza Mukama mu South Africa. Abamu babadde balowooza nti Pasita yagingulidde naye tetujja kuwa bantu bonna story ntuufu”.

Makula bwe yabadde ayogerako ne munnamawulire MC Ibra yagambye nti aba New Chapter baludde nga bakolagana ne Bugingo era y’emu ku nsonga lwaki yabatonedde ekirabo ky’emmotoka.