Omuyimbi Eddy Kenzo akirizza nti mu kiseera kino, famire kintu kikulu nnyo mu bulamu bwe newankubadde y’omu ku bayimbi mu ggwanga Uganda abalina ku ssente.

Kenzo ali mu ggwanga erya Ivory Coast kyokka mu kiseera kino tasobola kudda mu Uganda oluvanyuma lwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okuggala ensalo n’okuyimiriza ennyonyi zonna ezitambuza abantu mu Uganda, ng’emu ku ngeri y’okutangira Corona Virus okusasaana.

Ku wikendi, Kenzo yabadde mu ddwaaliro era yagambye nti engeri gy’alina obulwadde bwa alusa, yalidde emmere omuli butto asukkiridde ssaako ne kaamulali, obulwadde ne buttuka, “Nyina bad ulcers ate abantu beno emmele yabwe ebamu buto munji era ne kamulali munji so emmele yeyarese obuzibu“.

Wabula ng’omusajja omulala yenna nga muzadde, Kenzo yayogeddeko ne muwala we omukulu Maya Musuza era amangu ddala yagambye nti okuwayamu n’omwana we, kimuyamba okuwulira obulungi, “Talking to my little one makes me feel better“.

Okusinzira ku Ssenga Kawomera omukugu mu nsonga z’omukwano, ebigambo bya Kenzo biraga nti abadde asindikira eyali mukyala we Rema Namakula obubaka mu bbaasa okumukiriza okulaba ku mwana we Aamaal Musuuza.

Ssenga Kawomera agamba nti Kenzo okulaga nti okwogerako n’omwana we kiba kimuzaamu amaanyi, alaga nti Rema yandibadde amuwa omukisa okulaba ku mwana Aamaal newankubadde teyakoonye ku linnya lye kyokka alina okusomera ebbaluwa mu bbaasa.