Mu kiseera ng’abantu bali mu Kalantini ssaako ne Kafyu, Poliisi ekutte ssemaka ku by’okudda ku muwala we myaka esatu (3) namusobyako.

Deogratius  Mutabazi Kabwensi myaka 39 nga mutuuze ku kyalo Kibingo mu ggombolola y’e Kaharo mu disitulikiti y’e Kabale yakwattiddwa.

Okusinzira ku batuuze, Mutabazi yafuna obutakaanya ne mukyala we ali mu gy’obukulu 27 era bwe yali anoba, yatwala muwala we, naamulekera omwana omulenzi ali mu gy’obukulu 13.

Abatuuze bagamba nti sabiti ewedde ku Lwomukaaga, Mutabazi yalumba mukyala we namugyako omwana kyokka wayise ennaku ntono, omwana yasangiddwa ng’ali maziga.

Kigambibwa, olwatuusa omwana ku myaka 3, yamufuula mukyala we era abadde amukozesa mu kiseera kino nga bali mu Kalantini ne Kafyu, olwa mukyala we okumusuulawo.

Omwana asangiddwa ng’atandiise okuvunda ebitundu by’ekyama ng’ali maziga, ali ku kigambo kimu taata, ekitabudde abatuuze, Poliisi neyitibwa.

Omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi Elly Maate, agambye nti ssemaka ‘Mulya Buto’ Mutabazi ali mikono gyabwe era essaawa yonna bamutwala mu kkooti ku musango gw’okujjula ebitanajja.