Poliisi ekutte omukyala ku by’okusindikiriza omwana omuto ali mu gy’obukulu 14, okusinda omukwano okusobola okwejjako ennyonta y’akaboozi.

Omukyala Pamela Akullu myaka 27 yakwattiddwa nga mutuuze ku kyalo Lungulu mu disitulikiti y;e Nwoya.

Okusinzira ku Poliisi, Omukyala Akullu yakozesa omwana, sabiti ewedde ku Lwokutaano ekiro.

Kigambibwa, yasaba omulenzi okumuwerekerako okudda awaka kyokka webatuuka mu kkubo, yamukaka okumukwatirira ebitundu by’ekyama oluvanyuma ne badda mu kaboozi.

Jimmy Patrick Okema, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Aswa agambye nti omukyala n’omwana bagiddwako sitetimenti era omukyala Akullu aguddwako omusango gw’okusobya ku mwana omuto.