Bya Nalule Aminah

Ekitongole ekivunanyizibwa ku bantu abayingira n’abafuluma eggwanga kitegeeza nti wakyaliwo entesegenya ezikyagenda mu maaso wakati wa gavumenti ya Uganda ne Kenya ez’okugonjoola okwemulugunya kw’abagoba b’ebidduka abettika eby’amaguzi abali ku nsalo e Malabba abaavudde mu mbeera ne bekalakasa.

Kinnajjukirwa nti okuva gavumenti ya Uganda lweyasalawo okutandiika okukeberera abagoba  b’ebidduka abettika eby’amaguzi oba balina obulwadde bwa COVID-19 nga bakyali ku nsalo, wabaddewo omujjuzo ku nsalo ez’enjawulo naddala eye Malabba ekiviriddeko ba ddereeva okwekalakasa nga bagamba nti bakooye embeera y’okubanyigiriza.

Ku nsalo y’e Malabba, waliwo olunyiriri lw’emmotoka  eziriko eby’amaguzi nga banyini zo balindirira okubakebera n’okufuna ebivudde mu kubakebera oluweza Kilo Meter ezisoba mu 50 ekitabudde baddereva bano.

Wabula Jaccob Simunyu omwogezi w’ekitongole  ekivunanyizibwa ku bantu abayingira n’abafuluma eggwanga ategezeza nti bakolagana ne Minisitule y’eby’obulwmu okukola ekisoboka  kyona okukendeeza ku mujjuzo guno.