Kyaddaki Faridah Nakazibwe alaze abawagizi be nti ddala ali mu laavu ne bba Dr. Omar Ssali wadde ebigambo byogerwa.

Waliwo ebigambibwa nti omusajja Dr. Ssali yafera Nakazibwe omukwano n’okumulimba nti Musawo omukugu akola ku ndwadde ez’enjawulo kyokka ng’emirimu gye agikolera bweru wa ggwanga.

Wabula oluvanyuma ebigambo byatandika okuyitingana nti Dr. Ssali akola gw’asikaali era mbu y’emu ku nsonga lwaki yadduka mu ggwanga olw’obulimba n’okuswala.

Kati no Nakazibwe alaze nti ddala bba akola bw’asikaali era akirizza nti mukyala we ebigambo tebiyinza kumuggya ku mulamwa era ku mukutu ogwa Instagram agambye nti, “Mukyala Askar nga ayimiridde ku kazigo ke ku lunaku lwa Eid”.

View this post on Instagram

Mukyala Askar nga ayimiridde ku kazigo ke 😜😜 ku lunaku lwa Eid.

A post shared by #Faridah (@fsnakazibwe18) on