Omusirikale wa Tulafiki eyatomeddwa emmotoka akawungeezi k’olunnaku olwa Ssande ku Jinja Road afudde enkya ya leero.

Police Constable Innocent Ayesigye yatomerwa emmotoka ekika kya Toyota Rav4 namba UAS 597U bwe yabadde ku pikipiki e Namanve.

Ayesigye yaddusibwa mu ddwaaliro e Mulago ng’ali mu mbeera mbi gye yaggiddwa okutwalibwa mu ddwaaliro e Rubaga, gyafiiridde enkya ya leero ku Lwokubiri.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, Ayesigye afudde olw’ebiwundu ebingi ebyamutusiddwako.

Onyango agamba nti Poliisi ekyanoonya ddereeva eyabadde avuga Rav4, eyakoonye omusirikale waabwe ku ssaawa ng’emu, eyakawungeezi ku Ssande.

Omusirikale Constable Ayesigye abadde akolera ku Poliisi y’e Seeta era yabadde ku pikipiki ya Poliisi namba UP 2164.

Kigambibwa ddereeva wa Rav4 yabadde ku misinde, okwewala essaawa za Kafyu.