Ssentebbe w’ekibiina ki NRM era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni akambuwadde ku nsonga ya bannayuganda abasukkiridde emputtu ku ky’okulwanyisa Kolona ne bagiteekamu omuzannyo.

Museveni agamba nti Gavumenti ye, ekoze buli kimu, okusomesa bannayuganda ku ngeri y’okwetangira okulwala, wabula waliwo abagamba nti balinze kulaba ku muntu afudde Kolona okakasa nti atta nga ne mu Uganda yatuuka dda.

Bw’abadde ku mukolo, gw’okujjukira abazira b’eggwanga mu State House Entebbe, Museveni agambye nti obulagajjavu ku bannayuganda n’obutafaayo, bangi bagenda kulwala saako n’okufa singa tebeddako.

Okubyogera, asinzidde ku bantu abamu abakkiriziddwa okudda mu Kampala okutambuza emirimu kyokka bangi ku basuubuzi, bakyagaanye okwambala masiki ssaako n’okwewa amabaanga, ekigenda okutambuza obulwadde.

Muzeeyi Museveni  abadde omukambwe ajjukiza bannayuganda okulowooza ku bulamu bwabwe okusinga okusindikiriza, okubakkiriza okudda ku mirimu gye bagenda okulwalira ssaako n’okufa nga bwe guli, kumpi mu nsi yonna.

Ku nsonga y’abayizi okubakkiriza okudda ku masomero, Museveni abikudde ekyama nti afunye okusaba okuva mu bazadde ab’enjawulo, obutakkiriza baana kudda ku massomero omwaka mulamba kuba bayinza okulwalirayo.

Mungeri y’emu azzeemu okulabula abantu obutakungaana nga bagenda okuziika, embaga obutasukka bantu 10 ssaako n’okwewala engeri zonna eziyinza okutambuza obulwadde.

Ku nsonga ya Gavumenti okuwa abantu masiki ez’obwereere, Muzeeyi Museveni agambye nti omulimu gutandika olunnaku olw’enkya era akubiriza abantu okuzifuna, okuzeyambisa mu kwetangira okulwala.

Eddoboozi lya Museveni