Abalwadde ba Covid-19 mu ddwaaliro ekkulu e Masaka, bakedde kwekalakaasa nga bawakanya embeera gye balimu ssaako n’obutafibwako.

Abekalakasizza basajja abaazuulibwa nga balina Covid-19 era banokoddeyo ensonga ez’enjawulo omuli abasawo obutabafaako, balya bubi, embeera ku ddwaaliro sinungi ate nga tewali kiraga nti balwadde.

Mu kwekalakaasa nga basinzira mu kisenge, mwe basula, bakubye enduulu, okuba amadirisa n’enzigi nga beyambisa engalo zaabwe, okutuusa eddoboozi lyabwe era abakulira eddwaaliro.

Mungeri y’emu agambye nti Minisitule y’ebyobulamu erina okuvaayo okubategeeza lwaki bakyaganiddwa okudda awaka, ate nga tebalina kiraga nti balwadde.

Bagamba embeera gye balimu embi, esinga n’abo, abali amakkomera ag’enjawulo.

Abasajja okwekalakaasa, sabiti ewedde waliwo omukyala era ku ddwaaliro e Masaka nga naye alina Covid-19 eyakwata akatambi ng’alaga embeera embi eri ku ddwaaliro.

Omukyala, yalaga nti kabuyonjo tezikyakola, balya bubi, babagattika abalwadde n’abaana abato ssaako n’okubateeka okumpi ne ggwanika.

Wabula omwogezi wa Minisitule y’ebyobulamu Emmanuel Ainebyona ayogeddeko naffe era agambye nti okunoonyereza ku nsonga ezo, kutandikiddewo.

Abalwadde ba Covid-19