Kyaddaki omuyimbi Eddy Kenzo ayogedde amazima lwaki yakubye oluyimba ‘Tulinda Mugole’ ng’asinzira mu Abidjan, Cote d’Ivoire.
Ebigambo bibadde bitandise okwogerwa nti Kenzo yafunye omukyala omulala okudda mu bigere bye Rema Namakula era y’emu ku nsonga lwaki yakubye oluyimba okutegeeza abawagizi be nti kati alina omukyala.

Wabula Kenzo bw’abadde awayamu naffe agambye nti ebintu by’okunoonya omuntu sibyangu, okufuna omuntu gwewesiga kwekusalawo okufulumya oluyimba, okuwa abantu essanyu.

Kenzo agamba nti oluyimba yalukubidde buli muntu yenna nga tannawasa, okubategeeza nti Tulinda Mugole ne bannabyabufuzi abagenda okwesimbawo mu kulonda kwa 2021 kuba kati bagole.

Mu kiseera kino Kenzo talina mukyala amanyikiddwa oluvanyuma lwa Rema Namakula okumusuulawo ku lwa Dr. Hamzah Ssebunya era yamwanjula mu bazadde e Nabbingo ku lwe Masaka nga 14, November, 2019.

Eddoboozi lya Kenzo