Omukyala myaka 40 atwaliddwa ku kitebe kya Poliisi e Jinja ku misango gy’okutta Nnyina.

Fatuma Najjuma, nga mutuuze ku kyalo Nakanyonyi-Bukwale mu Tawuni Kanso y’e Bugembe mu disitulikiti y’e Jinja yakwattiddwa.

Najjuma yakwattiddwa akawungeezi k’olunnaku Olwokutaano, ku bigambibwa nti ye ne muganzi we ategerekeseeko erya Bashir baalumbye omukadde Sophia Nakayenga myaka 75 ne bamutuga ne bamutta, omulambo ne baguteeka ku buliri, enju ne bagiteekera omuliro okubuzabuza obujulizi ku kyalo kye kimu.

Abatuuze bekozeemu omulimu ne bazikiza omuliro era amangu ddala omulambo gwatwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Jinja okwekebejjebwa okuzuula ekituufu.

Alipoota y’abasawo eraga nti Nakayenga yattiddwa oluvanyuma enju ne bagiteekera omuliro.

Joel Ntuyo, ssentebbe w’ekyalo Nakanyonyi-Bukwale agamba nti Najjuma ne  muganzi we basse omukadde, okusobola okutunda ettaka lye fuuti 100 ku 100.

Abby Ngako, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kiira agambye nti Najjuma aguddwako gwa butemu era okunoonyereza kutandikiddewo.

Eddoboozi lya Ngako