Kyaddaki Omukyala Zari Hassan naye azizza omuliro oluvanyuma lw’abantu okumutabukira ku nsonga z’obwa Pulezidenti.
Zari yavuddeyo ku nsonga ezigenda mu maaso mu ggwanga ku bannayuganda okwekeneenya obulungi okusalawo ku muntu omutuufu agwanidde okulya obwa Pulezidenti bwa Uganda mu kulonda kwa 2021.
Mu vidiyo, Zari yagambye nti bannayuganda balina okwebuuza oba omuntu yenna eyeegwanyiza obwa Pulezidenti bwa Uganda alina ebisanyizo wabula agamba nti ab’ekisinde kya People Power baamutabukidde.

Zari Hassan
Zari Hassan

Zari agamba nti oluvanyuma lw’okwogera ku Bobi Wine, yavumiddwa aba People Power omuli okumulangira obwa Malaaya, obusoga, obwenzi ate nga balemeddwa okutegeera obulungi ensonga ku nsonga z’ebisanyizo.

Mu kwanukula aba People Power, Zari agambye nti, “mukomye akamanyiro, mulina obwongo obutono ate nga muli mu mbeera mbi”. Zari agamba nti aba singa Bobi Wine alondebwa ku bwa Pulezidenti, kiyinza okuba ekizibu abantu okuddamu okwogera kuba balaga nti tebagabwako wabula okuvuma abantu.

Ensonga za Zarina zonna mu vidiyo