Omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road Miriam Akello ayimbudde Juma Akankwasa abadde mu kkomera ku misango gy’okufumita akambe abakozi b’ekitongole ki KCCA babiri (2).
Omulamuzi amukirizza okweyimirirwa oluvanyuma lw’okuleeta abantu 2 abakkiriziddwa nga balina ebisanyizo.
Akankwasa asabiddwa miriyoni emu nga yabuliwo ate abamweyimiridde obukadde 10 buli omu nga si zabuliwo.
Mungeri y’emu bonna basabiddwa okuwaayo ebikwata ku Ndaga muntu zaabwe era omusango gwongezeddwayo okutuusa nga 25, omwezi guno Ogwomunaana.
Okusinzira ku ludda oluwaabi, nga 17, omwezi oguwedde Ogwomusanvu, Akankwasa yali agezaako okutta abakozi ba KCCA omuli Lameck Mutebi ne John Lubega nga bonna yabafumita akambe mu Kampala ne batwalibwa mu ddwaaliro lya Norvik Hospital mu Kampala nga bali mu mbeera mbi kyokka oluvanyuma baweebwa obujanjabi.