• 1.5K
    Shares

Webuzibidde olwaleero ng’abantu 9 bebakajjayo empapula mu kakiiko k’ekyokulonda okulaga nti begwanyiza obwa Pulezidenti bwa Uganda mu kulonda kwa 2021.

Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) era omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine aggyeeyo empapula.

Bobi Wine asindise omuwandiisi w’ekibiina ki NUP Paul Simbwa Kagombe okumugirayo empapula.

Abalala abakagyayo empapula kuliko eyali ayagala okukikirira abalonzi b’e Luweero Elizabeth Lugudde-Katwe amanyikiddwa nga Dr. Nabatanzi, Charles Mutasa Kafeero eyali munnakibiina kya FDC, Dr. Joel Ssekimpi okuva mu World Saver’s Church, Edward Niyonzima omutuuze okuva e Mubende.

Abalala abagamba nti balina okuggya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni mu ntebe mu kulonda kwa 2021 kuliko Godwin Batuwadde Sempwebwa okuva e Bwaise,  Ainebyoona Aluga (Vixkingo) omusuubuzi okuva e Sheema, Omusuubuzi Nkangabwa John Habert ne Ebutu Simon nga naye musuubuzi.

Bonna abaggyeyo empapula, balina okunoonya emikono 100 mu buli disitulikiti, okulaga nti balina obuwagizi mu ggwanga lyonna.

Eddoboozi lya Dr. Nabatanzi


  • 1.5K
    Shares
  • 1.5K
    Shares