Poliisi eri mu kusamba nsiko okunoonya abatemu, abaalumbye omutuuze Badiru Magemeso myaka 25 ku ssaawa nga 2 ez’ekiro, ekikeseza olwaleero ne bamutematema.

Abatemu, bamusanze yakatuuka awaka ku kyalo Budhumbuli mu ggoombolola y’e Bugembe mu kibuga kye Jinja era yatemeddwa ejjambiya ku mutwe, okutu kwa ddyo ne mu kifuba.

Badiru eyatemeddwa, asaangiddwa mu ddwaaliro ekkulu e Jinja era agamba nti abatemu, baabadde basatu (3) nga bonna bayambadde Masiki ne bamutema nga baagala ssente era badduse, oluvanyuma lw’abatuuze okuwulira omulanga ng’asaba okutaasibwa ne baggya okumuyamba.

Eddoboozi lya Badiru

Ate abatuuze nga bakulembeddwamu Abudullah Mukisa bagamba nti Poliisi, esukkiridde obulagajjavu mu kulawuna obudde obw’ekiro, ekivuddeko ababbi n’abatemu okweyongera.

Abbey Ngako, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kiira agamba nti Poliisi, etandiise okunoonyereza kwe kusaba abatuuze okolagana mu kiseera kino okulwanyisa abamenyi b’amateeka.