Poliisi y’e Katwe eri mu kunoonya abasajja 5 ku by’okusobya ku muwala Nagujja Aidah myaka 20.

Okusinzira ku Poliisi, Nagujja yakyaliddeko muganzi we ategerekeseeko erya Sula, e Namasuba Ssabbagabbo mu Divizoni y’e Makindye ne badda mu kaboozi, olwamaze muganzi we nafuluma.

Nagujja agamba nti amangu ddala, abasajja 4 baayingidde mu nnyumba, mikwano gwa muganzi we, ne bamusobyako kirindi okumala essaawa 4 nga bayambibwako muganzi w Sula.

Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, agambye nti abasajja bonna baliira ku nsiko mu kiseera kino wabula Poliisi etandiise okubanoonya ku misango gy’obuliisa maanyi.

Enanga agamba nti abanoonyezebwa kuliko muganzi wa Nagujja Sula, mikwano gye okuli Ali, Abdullah ssaako n’emikwano gyabwe babiri (2).

Eddoboozi lya Enanga