Poliisi esambaze ebyogerwa n’ebiyitingana  nti sipiika wa Palamenti Rebecca Alitwala Kadaga ayitiddwa ku kitebe kya Poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango okuwa sitetimenti ku by’omusajja eyakwattiddwa, by’okumutwalira omutwe ogw’omwana.

Omusajja Nuwashaba Joseph myaka 22 yakwattiddwa ku ggeeti ya Palamenti ku Mmande ku makya bwe yabadde atwalira sipiika ekirabo ky’omutwe gw’omwana Faith Kyamagero myaka 5, eyattiddwa ku kyalo Kijabwemi mu ggoombolola y’e Kimanya Kyabukuza mu kibuga kye Masaka.

Sipiika Kadaga ne Nuwashaba
Sipiika Kadaga ne Nuwashaba

Wabula mu kunoonyereza, wabaddewo ebiyitingana ku mikutu gya yintaneti omuli Face Book, nga sipiika bw’ayitiddwa okuwa sitetimenti ku bigambibwa nti Nuwashaba eyakwattiddwa yabotodde ebyama nti yafunye okutegezebwa nti mu Uganda, sipiika y’omu ku bantu abasiinga oggula emitwe gy’abantu ku bbeeyi eyawaggulu nga y’emu ku nsonga lwaki yasse omwana okufuna ku nsimbi ez’amaangu.

Wabula omwogezi wa Bambega mu kitongole kya Poliisi Charles Twine, agambye nti amawulire agayitingana makyamu ddala, kwe kulabula bannayuganda okomya okutambuza amawulire ag’obulimba n’okuwa sipiika ekitiibwa ekimugwanidde.