Bya Zainab Ali

Abakola ku byokwerinda ku ddwaaliro lya IHK e Kawongo bagobye bannamawulire abakedde okuddukira ku ddwaaliro, okufuna amawulire ku nfa ya Al Hajji Nasser Ntege Ssebagala.
Basabiddwa okudda ebweru w’eddwaaliro okutuusa nga bafunye olukusa okuva eri abakulu abakulira eddwaaliro okuyingiza ebyuma munda omuli Kamera ssaako n’okukwata amawulire.

Wabula bannabyabufuzi omuli omubaka we Kyadondo East era Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine), Omubaka omukyala owa Kampala Nabilah Naggayi Sempala, Kansala mu lukiiko lwa KCCA Ssegirinya Muhammad n’abalala bakkiriziddwa okuyingira.

Bobi atuuse ku ddwaaliro wakati mu byokwerinda okuva mu Bakanyama be era alidde eswagga nga bamutwala mu kasenge omuli famire y’omugenzi.