Omulamuzi wa kkooti enkulu e Masindi Paul Gadenya enkya ya leero ku ssawa nga 3 ez’okumakya atwaliddwa mu ddwaaliro nga tali mu mbeera nungi oluvanyuma lw’okugwa kabenje  ku luguudo lwa Kampala- Masindi.

Kigambibwa abadde agenda mu kkooti enkulu e Masindi, emmotoka ye kwe kuyingirira emmotoka endala ku kyalo Bigando-Masindi.

Gadenya abadde ne ddereeva we ssaako n’omukuumi we corporal Oscar Opok, bonna batwaliddwa mu ddwaaliro lya Kitara Medical Center mu kibuga kye Masindi okufuna obujanjabi.

Emmotoka ye namba UG0781J Pajero eyambalaganye bwenyi ku bwenyi ne Fuso namba UBH 831A.

Julius Hakiza, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Albertine agambye nti Poliisi etandiise okunoonyereza ekivuddeko akabenje.

Wabula akulira eddwaaliro lya Masindi- Kitara Medical Centre, Patrick Byamukama agambye nti omulamuzi ne banne basindikiddwa mu ddwaaliro e Nakasero okufuna obujanjabi obusingawo.