Ssentebbe w’ekibiina ki NRM era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni akkirizza abayizi ssaako n’abasomesa okweyambisa entambula z’olukale mu kiseera ng’amasomero gazzeemu okusomesa abaana sabiti ejja ku Lwokuna nga 15 omwezi guno.

Omwezi oguwede, minisitule y’ebyenzigiriza yalabula abayizi n’abasomesa okwewala etambula y’olukale kuba kiyinza okutambuza Covid-19 okumuyingiza massomero.

Wabula Mukulu Museveni agamba nti abayizi n’abasomesa baddembe okweyambisa entambula z’olukale wabula balina okuteeka mu nkola engeri zonna ez’okutangira okutambuza obulwadde omuli n’okwambala masiki.

Museveni One

Okubyogera, asinzidde mu State House Entebe, ku mikolo gy’abasomesa nga bakuza olunnaku lwabwe, olukuziddwa olunnaku olwaleero.

Agamba nti eky’okutangira abasomesa okutambula kuba nakyo, kiyinza okutambuza obulwadde, abasomesa bandibadde basula ku massomero olw’abayizi okuba nga batono, nga bayinza okweyambisa ebibiina okufuna owokusula.

Museveni Two

Museveni okwanukula ku nsonga ezo, kidiridde ssabawandiisi w’ekibiina ekigatta abasomesa ekya Uganda National Teacher Association, Filbert Baguma okutegeeza nti eky’okulemesa abasomesa n’abayizi okweyambisa entambula y’olukale, bangi ku basomesa bayinza okulemwa okudda ku massomero ssaako n’abayizi okusigala awaka nga balemeddwa okufuna engeri y’okudda ku massomero, okutambuza emisomo gyabwe.

Sabiti ejja, abayizi bokka abali mwaka ogusembayo omuli abali mu kibiina eky’omusanvu (P7), S4, S6 ne ku matendekero agawaggulu, bebalina okudda ku massomero.