Poliisi ekutte omusajja abadde apangisa abawala abato ne badda mu kusinda omukwano mu kirindi ng’abasuubiza obukadde bwa ssente.

Omusajja akwattiddwa, ali mu gy’obukulu 40 nga mutuuze mu kibuga Lagos mu ggwanga erya Nigeria.

Kigambibwa, omwezi oguwedde, omusajja oyo akwattiddwa, yanoonya abawala 10 wakati w’emyaka 15 ne 17 ng’abasuubiza obukadde bwa ssente singa bakkiriza okusinda omukwano mu kirindi okumala omwezi mulamba.

Ssente zeyali asuubiza, mu za Uganda ziri mu bukadde 10 buli omu kyokka omwezi olwaweddeko Ogwomwenda, omusajja neyefuula.

Omu ku baana (amannya gasirikiddwa), yaddukidde ku Poliisi eri okumpi era omusajja akwattiddwa, ayambeko Poliisi mu kunoonyereza.

Kigambibwa, omusajja yabadde akwata vidiyo ez’okutunda mu nsi z’ebweru ez’obuseegu nga y’emu ku nsonga lwaki yafuna abawala abato, abatunda mu kiseera kino.

Omuwala agamba nti omusajja abadde abawa amakereenda ne gabongera amaanyi nga bali mu kwegatta ssaako n’okuwangala mu kazannyo ssaako naye, okwekuba empiso ng’alina okubakozesa wakati we ssaawa 2 ku 3.