Ssentebbe w’ekibiina ki NRM era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni atabukidde abakulembeze mu ggwanga omuli abakiise ba Palamenti okumala gamansa ebigambo, ebiyinza okufiiriza eggwanga.

Museveni agamba nti yewunyizza ennyo abamu ku bakiise ba Palamenti okusimbira ekkuli, eky’okuzimba enguudo mu ggwanga Congo, bekwasa obusonga obutaliimu nti, mu Uganda bangi ku bannansi bakyakaaba enguudo embi.

Bw’abadde ayogerako eri eggwanga, nga Uganda ejjaguza okuweza emyaka 58 bukya efuna bwetwaze mu 1962, Museveni agambye nti Uganda okutumbula eby’obusuubuzi, erina okuzimba enguudo eziyingira mu ggwanga erya Congo ne South Sudan, kiyambeko abasuubuzi okutambula obulungi.

Museveni one

Ku ntikko y’omukolo ogubadde mu State House Entebe mu nkola eya ‘Science’, Museveni akangudde ku ddoboozi nti enguudo zirina okuzimbibwa, kuba zigenda kuyamba nnyo okutumbula onkolagana mu by’obusuubuzi n’okulongoosa eby’entambula.

Ku nsonga y’okulwanyisa ebbula ly’emirimu, Museveni ayimirizza abasuubuzi bonna okusuubula bbaasi okuva mu nsi z’ebweru nga balina zikolera wano.

Mungeri y’emu awadde bannayuganda essanyu bw’asuubiza okutandiika okola empapula okuva mu byayi by’ebitooke.