Poliisi etandiise okunoonyereza oluvanyuma lw’abazadde 2 okuttibwa abaana baabwe ku byalo eby’enjawulo mu ggoombolola y’e Alito mu disitulikiti y’e Kole akawungeezi k’olunnaku Olwokutaano.

Abattiddwa kuliko Jimmy Obang myaka 40 ng’abadde mutuuze ku kyalo Barongin ne Mary Acen, 54 nga naye abadde mutuuze ku kyalo Acandyel, bonna mu disitulikiti y’e Kole.

Obang yattiddwa mutabani we Denis Okello myaka 20 nga yamufumise effumu wakati mu kulwanagana.

Cyprian Ocuti, ssentebe wa LCII mu muluka gwe Barongin agamba nti Obang yakomyewo awaka nga yenna atamidde kwe kutandiika olutalo ne famire ye. Aba famire baasobodde okudduka wabula taata Obang yakutte effumu kwe kulumba omwana Dennis Okello mu nnyumba wabula omwana yamusinzizza amaanyi namuggyako effumu namufumita era yafudde bamutwala mu ddwaaliro.

Ate Mary Acen yattiddwa mutabani we Lawrence Owiny, 33 nga yamukubye omuggo ku mutwe olw’obutakaanya awaka.

David Otabong, addumira Poliisi mu disitulikiti y’e Kole agamba nti Owiny akwattiddwa ku misango gy’okutta omuntu era Poliisi etandiise okunoonyereza.