Abamu ku bannansi mu ggwanga erya Kenya, bakolokose bannamateeka mu ggwanga lyabwe abeegatira mu kibiina kyabwe ekya Law Society of Kenya (LSK) okuva ku nsonga ne badda mu kunywa bu Caayi.

Bannamateeka abo, nga bakulembeddwamu Pulezidenti w’ekibiina kyabwe Nelson Havi, okuva sabiti ewedde, nga bategese okwekalakasa olunnaku olw’eggulo ku Mmande nga bawakanya ekya omukulembeze w’eggwanga Uhuru Kenyatta okulemwa, okusatulula Palamenti kyokka webatuuse ku Palamenti, ebifaanayi byagenze okuvaayo nga bali mu Kantini ya Palamenti bali mu kunywa caayi ne migaati.

Aba LSK ku Palamenti
Aba LSK ku Palamenti

Wadde omukulembeze waabwe Havi, agamba nti ensonga ezaabatutte baasobodde okuzitegeeza Kiraaka wa Palamenti era asuubiza okuzitwala eri sipiika w’olukiiko olukulu, bangi ku bannansi bagamba nti omululu gwa Caayi ne migaati gw’abasingidde ensonga enkulu era kye baakoze kikolwa kya kulya mu nsi yaabwe lukwe.

Aba LSK ku Palamenti
Aba LSK ku Palamenti

Sabiti 2 ezakayita, Ssaabalamuzi David Maraga yawandikira Pulezidenti Kenyatta ebbaluwa okusatulula Palamenti olw’okutambulira mu ngeri amenya amateeka ng’abakyala abalimu tebaweza 1 kya 3 nga bwekirambikiddwa mu mateeka.

Wabula abakiise ba Palamenti babiri (2) okuva ku ludda oluvuganya, baddukira mu kkooti enkulu okuyimiriza eky’okusatulula Palamenti era ensonga ziri mu kkooti mu kiseera kino.