Ku lunnaku Olwokutaano nga 16, October, 2020, Omusango gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa mu kkooti enkulu mu Kampala mu maaso g’omulamuzi Musa Ssekaana.

Mu kirayiro Kibalama ne Kagombe kye baakuba baalaga nti baakolera ku mpapula enjigirire okwali n’emikono gye baayita egya bammemba b’ekibiina ekikadde ekya National Unity Reconciliation and Development Party (NURP) egyali emigingirire nti era gye baaweereza mu kakiiko k’ebyokulonda ne gikozesebwa mu kukyusa ekibiina okufuna NUP n’okukyusa obukulembeze ne bakikwasa Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) mu ngeri gye boogerako kati nti teyagoberera mateeka.

Mu musango guno, Kibalama eyali Pulezidenti w’ekibiina ekyavaamu NUP agulimu ne Paul Ssimbwa Kagombe (eyali Ssaabawandiisi).

Kkooti y’omulamuzi Ssekaana erina okusalawo ku bintu bibiri; Ekisooka NUP eriwo mu mateeka? Ekyokubiri eriwo mu bumenyi bw’amateeka? Bw’eba esazeewo nti yatondebwawo nga tegoberedde mateeka ekiddako, ebeera nsasagge ku balina kaadi y’ekibiina Omuli ababaka ba Palamenti, abaagala ebifo mu gavumenti ez’ebitundu n’abalala.

Wabula nga wasigadde ssaawa mbale omulamuzi okuwa ensala ye, tukuletedde ezimu ku nsonga, eziyinza okuyamba Bobi Wine okuwangula Kibalama mu kkooti ku lunnaku Olwokutaano.

1 – Entekateeka z’akakiiko k’ebyokulonda. Mu kiseera kino, bangi ku bannakibiina kya NUP basunsuddwa akakiiko k’ebyokulonda okuvuganya mu kulonda kwa 2021. Singa Kibalama awangula omusango, entekateeka z’akakiiko k’ebyokulonda zonna zirina okudibwamu, ekiyinza okufiiriza eggwanga obuwumbi bwa ssente.

2 – Okulwanyisa Bobi Wine. Mu kiseera kino singa Omulamuzi agamba nti Kibalama awangudde Bobi Wine mu kkooti, wadde omulamuzi awadde ensala mu mateeka, kigenda kulabika nga Gavumenti eri mu kulwanyisa Bobi Wine, ekiyinza okutabula bannakibiina kya NUP.

3 – Obujjulizi bwa Kibalama mu kkooti. Kibalama ebigambo bye mu kkooti, bigenda kuyamba nnyo omulamuzi okusalawo omusango ng’asinzira ku bujjulizi okuva ku njuyi zombi. Kibalama yateeka emikono ku biwandiiko bya mirundi 2 omuli ekikkiriza nti yawaayo ekibiina n’ekiwakanya, ekiraga nti ebigambo bye, tebyesigika.