Poliisi y’abambega ekutte omusajja Ivan Samuel Ssebadduka mayaka 36 ku misango gy’okutisatiisa okutta abalamuzi ba Uganda bonna mu nnaku 7 zokka.

Ssebadduka nga mutuuze we Zzana ku luguudo lwe Ntebbe mu disitulikiti y’e Wakiso yakwattiddwa.

Okusinzira ku mwogezi w’abambega Charles Twine, Ssebadduka yawandikidde ssaabalamuzi Alfonse Owinyi Dollo okumutegezaako nti mu nnaku 7 zokka, abalamuzi bonna bagenda kuttibwa kyokka ensonga lwaki battibwa temanyikiddwa.

Twine agamba nti mu Uganda abantu bangi battiddwa oluvanyuma lw’okutegeezebwako era Ssebadduka ebigambo bye, tebiyinza kutwalibwa nga byakusaaga nga y’emu ku nsonga lwaki akwattiddwa, ayambeko Poliisi mu kunoonyereza.

Audio