Akwattidde ekibiina kya NUP bendera okuvuganya ku bukulembeze bw’eggwanga lino Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) asabye abalonzi b’e Nakifuma mu disituliki y’e Mukono okweyambisa okulonda kwa 2021, okuleeta enkyukakyuka gye betaaga.

Kyagulanyi agambye nti singa akwata enkasi okulembera eggwanga lino, Uganda agenda kufuna omukulembeze omuntu w’abantu, omukozi w’abantu ate omwetegefu okuteeka mu nkola okusaba kw’abantu.

Bw’abadde ayogerako eri abalonzi mu kisaawe kye Nakifuma, agambye nti okukyusa obukulembezemu ggwanga okuggya Yoweri Kaguta Museveni mu buyinza, kye kigenda okubayamba n’okukola ku nsonga zaabwe omuli okulwanyisa ekibba ttaka.

Bobi One

Mungeri y’emu agambye nti abasirikale mu bitongole ebikuuma eddembe okuba mu mbeera embi, y’emu ku nsonga lwaki obusungu bweyongedde n’okutwalira amateeka mu ngalo.

Kyagulanyi azzeemu okweyama okwongera abasirikale omusaala ng’omusirikale asookerwako afuna ssente 1,000,000/= singa akwata obuyinza mu kulonda okubindabinda okwa 2021.

Bobi Two