Abakulembeze mu disitulikiti y’e Namisindwa batabukidde Poliisi obutakola kimala okunoonya abantu abegumbulidde okutimbulula ebipande ssaako n’okubiyuza.

Abakulembeze abatabukidde Poliisi kuliko ssentebe wa LC 5 mu Tawuni Kanso y’e Magale Rogers Walyama, John Musila nga yesimbyewo mu Konsituwense y’e Bubulo west okukiika mu Palamenti y’eggwanga ssaako ne Stephen Mutoto, Kansala wa LC 5 mu ggoombolola y’e Bumulika.

Banno, bagamba nti waliwo abaana abegumbulidde okutimbulula ebipande nga basindikiddwa, kyokka Poliisi eremeddwa okubanoonya okuzuula abantu, abakulembeddemu okubatuma

Mungeri y’emu balemeddeko nti ebipande ebisinga obungi, bitimbululwa obudde bw’ekiro mu ssaawa za Kafyu, ekiraga nti ebitongole ebikuuma ddembe omuli Poliisi, birina okubayambako okuzuula abakyamu.

Wabula omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Elgon Rogers Taitika asambaze ebyogerwa nti Poliisi esukkiridde obulagajjavu ku nsonga y’okutangira abantu okutimbulula ebipande by’abantu abesimbyewo.

Poliisi erabudde abakulembeze okuddukira Poliisi ku nsonga zaabwe okusinga okusirika obusirisi ne badda mu kunyigirizibwa ne Pokopoko atagenda kubayamba.

Eddoboozi lya Taitika