Ekkanisa ya Uganda ekyasobeddwa lwaki Ssaabalabirizi eyawummula, Stanley Ntagali sitaani yamukemye okudda mu bwenzi ku myaka gye.

Ssaabalabirizi Dr. Stephen Kazimba Mugalu ayimirizza Ntagali obutabaako mirimu gya Kkanisa gy’akola oluvannyuma lw’okuzuulwa era n’akkiriza nti yaganza muk’omusajja, ekintu ekimenya amateeka.

Mu kiwandiiko Dr. Kazimba kye yawandikidde ekkanisa nga 13, Janwali, 2021, yagambye nti, “Mu kunyolwa okw’amaanyi, njagala okutegeeza nti muganda waffe mu Kristo, Ntagali yeenyigira mu kuganza muk’omusajja. Era ye yennyini Ntagali yakkirizza ensobi eyo era ne yeenenya okusonyiyibwa. Ntagali okukola obwenzi alidde olukwe mu Kkanisa, alidde olukwe mu Mukama waffe era amenye ebiragaano bye yakuba ne mukyalawe obutaganza mukazi mulala mu bulamu bwe. Ntagali yamenye ebirayiro bye yakola ng’Omwawule era Ssaabalabirizi okukuuma amateeka g’Ekkanisa“.

Okusinzira ku bigambo ebitambula, kigambibwa nti omukazi eyatengula Ntagali ye Judith Tukamuhabwa muka Rev. Christopher Tugumehabwe omusomesa w’ebyeddiini (Theology & Religious Studies) mu yunivasite ya Bishop Barham University College, Kabale era kigambibwa nti obufumbo bwabwe buludde nga buyuuga emyaka egisukka 3 era mbu Ntagali abadde ayambako okutebenkeza ensonga z’amaka gaabwe.

Wabula Kojja Kityo omukugu mu nsonga z’omukwano, agamba nti ng’omusajja omulala yenna, Ntagali naye musajja era alina firingi, eky’okwagala muk’omusajja si yasoose.

Kojja agamba nti wadde Ntagali musajja munnadiini, sitaani asobola okumukema okukola ensobi.

Ate Ssenga Kawomera agamba nti, “ekisooka omukyala alabika bulungi, Ntagali naye musajja alina firingi ate ayinza okuba naye obufumbo bwe nbuyuuga nga yali alina okunoonya omukyala omulala yenna okusobola okuwumuza ebirowoozo“.