Ebitongole ebikuuma ddembe okuli Poliisi n’amaggye abaludde nga basiimba amakanda, okulemesa Pulezidenti w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) okuva makaage Magere mu tawuni Kanso y’e Kasangati mu disitulikiti y’e Wakiso, kyaddaki bakirizza okuteeka mu nkola ekiragiro kya kkooti enkulu mu Kampala.

Amaggye ne Poliisi agaabadde e Magere
Amaggye ne Poliisi agaabadde e Magere

Kinnajjukirwa nti Bannamateeka ba Kyagulanyi, baddukira mu kkooti enkulu mu Kampala mu maaso g’omulamuzi Micheal Elubu nga bagamba nti okuva nga 14, omwezi guno ogwa Janwali, Kyagulanyi ne Mukyala we Barbie Itungo Kyagulanyi, oluvanyuma lw’okulonda mu kulonda kw’omukulembeze w’eggwanga n’abo abanaakiika mu Palamenti, ebitongole ebikuuma ddembe okuli Poliisi n’amaggye byabasibira mu maka gaabwe mu ngeri emenya amateeka.

Amaggye ne Poliisi nga balawuna e Magere
Amaggye ne Poliisi nga balawuna e Magere

Olunnaku olw’eggulo, Omulamuzi Elubu bwe yabadde awa ensala ye, yalagidde  Poliisi n’amaggye okwamuka amaka ga Kyagulanyi kyokka bw’aba alina emisango, baddembe okumukwata okumutwala mu kkooti okusinga okumusibira awaka ate nga si kkomera.

Ensala y’omulamuzi Elubu yasomeddwa omuwandiisi wa kkooti Jameson Karemani ekyawadde bannakibiina kya NUP essuubi wakati mu kulwanyisa ebikolwa eby’okutyoboola eddembe ly’obuntu.

Wabula omusasi waffe, enkya ya leero akedde kuddayo Magere ng’abasirikale bakkirizza okuteeka mu nkola ekiragiro kya kkooti era bonna baavuddeyo newankubadde okulawuna kw’abasirikale n’amaggye nga bali kabangali za Poliisi n’amaggye kukyagenda mu maaso okuviira ddala mu bitundu bye Seeta.