Gavumenti mu ggwanga erya South Sudan eyisizza ebiragiro ebiggya wakati mu kulwanyisa Covid-19.

South Sudan eragidde amassomero gonna okudda ku muggalo okuggyako abayizi bokka abali mwaka ogusembayo, abasemberedde okutuula ebigezo.

Enkungaana ziwereddwa, amasinzizo gaggaddwawo olw’okutangira abantu, okung’aana, ekiyinza okutambuza obulwadde.

Mungeri y’emu Kampuni ziragiddwa, abakozi okusigala awaka okuggyako abakozi bokka ab’enkizo, emmotoka ez’olukale, balina kutikka 1/2 nga takisi etambuza abantu 14, erina kutwala 7 bokka ate bonna balina okwambala masiki.

South Sudan yakazuula abalwadde 3,929, yakafiisa abantu 64 wabula abasawo bagamba nti engeri abantu gye beyisaamu, Covid-19 ayinza okweyongera okusasaana.

Pulezidenti Salva Kiir agamba nti okutangira abantu okulwala, y’emu ku nsonga lwaki abadde alina okubazza ku muggalo.