Kkooti y’amaggye e Makindye egobye okusaba kwa bannakibiina kya NUP abawagizi ba Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine), abaakwatibwa ku misango gy’okusangibwa n’ebyokulwanyisa mu ngeri emenya amateeka.
Banno okuli, Edward Ssebufu amanyikiddwa nga Eddie Mutwe, omuyimbi Bukeni Ali amanyikiddwa nga Nubian Li ssaako ne banaabwe 34 bakedde mu kkooti okuwuliriza okusaba kwabwe okweyimirirwa kyokka abalamuzi 7 nga bakulembeddwamu Lt.Gen.Andrew Gutti bagobye okusaba kwabwe era abamu, balabiddwako nga bayungula amaziga.

Sabiiti ewedde, kkooti y’emu yayimbudde abantu 13 wabula bonna abaasigadde mu kkomera 36, kkooti egobye okusaba kwabwe okweyimirirwa.

Kkooti egambye nti singa bayimbulwa, bayinza okutabangula ekibuga.

Okusinzira ku ludda oluwaabi, nga 3, Janwali, 2021 mu bitundu bye Makerere Kavule mu zzooni y’omu Kigundu e Kawempe, abavunaanibwa baasangibwa n’amasasi magazine 4 ag’emmundu ya AK 47 mu ngeri emenya amateeka.