Tanzania ebotodde ebyama ku bulamu bwa John Magufuli, wakati mu kulwanyisa Covid-19.

Ssabaminisita wa Tanzania Kassim Majaliwa avuddeyo ku bigambibwa nti Pulezidenti w’eggwanga John Pombe Magufuli myaka 61 ali mu mbeera mbi mulwadde wa Covid-19.

Okuva sabiiti ewedde, bangi ku bannansi mu ggwanga erya Tanzania babadde balemeddeko okubanja Pulezidenti Magufuli okuvaayo okwogerako eri eggwanga, okusangulawo ebigambo ebyogerwa nti mulwadde nnyo asizza ku byuma.

Amawulire gabadde galaga nti Magufuli yabadde mu ggwanga erya Kenya mu kasenge omujjanjabirwa abalwadde abayi (Intensive Care Unit) kyokka mbu yagiddwayo okutwalibwa mu ggwanga erya Buyindi okwongera okufuna obujanjabi bwa Covid-19.

Wabula Ssabaminisita Majaliwa abotodde ebyama era avuddeyo ku bulamu bwa Magufuli era asambaze ebyogerwa nti Pulezidenti mulwadde wa Covid-19.

Majaliwa agamba nti Pulezidenti Magufuli ali mu mbeera nungi nnyo si mulwadde era ali mu offiisi ye, atambuza mirimu.

Bwe yabadde ayogerako eri abantu ku Lwokutaano oluvanyuma lw’okusaala mu muzikiti omukulu mu bitundu bye Njombe mu maserengeta ga Tanzania, Majaliwa yagambye nti Pulezidenti Magufuli abadde alina emirimu mingi nnyo ng’alina okuba mu offiisi okugikola kyokka ali mu mbeera nungi.

Mungeri y’emu yagambye nti Pulezidenti alina entekateeka gyagoberera okwogerako eri eggwanga, tayinza okuvaayo okwogerako eri eggwanga olw’okuba abantu balemeddeko okwagala okumulabako.

Magufuli y’omu ku bakulembeze mu Africa eyagaana okusindika abantu ku muggalo gwa Covid-19.

Yategeeza nti Covid-19 tewali njawulo n’omusujja, abantu balina okulwala era balina okugenda mu malwaliro okufuna obujanjabi.

Kigambibwa okuva omwaka oguwedde, abantu bangi bafudde Covid-19 mu ggwanga erya Tanzania kyokka Gavumenti ekyalemeddwa okuteekawo embeera ku ngeri y’okumulwanyisa.

Mu Tanzania, Gavumenti yakoma okutegeeza abantu ebikwata ku Covid-19 mu April, 2020 era bangi ku bannansi bali nzikiza ku bulwadde bwa Covid-19.

Ate Pulezidenti w’eggwanga erya Kenya Uhuru Kenyatta ayongezaayo kafyu ennaku 60 nga kikoleddwa okutangira Covid-19 okwongera okutambula mu bantu.

Mungeri y’emu Kenyatta azzeemu okuwera enkungana okumala ennaku 30 omuli embaga, okuziika, ebyobufuzi.

Pulezidenti agamba nti mu Janwali, Kenya yali efuna abalwadde ba Covid-19 abali 100 kyoka kati bali mu 750, ekiraga nti omuwendo gw’abalwadde gweyongedde era y’emu ku nsonga lwaki abadde alina okukomyawo obukwakulizo.