Kyaddaki Poliisi ekutte abantu babiri (2) ku misango gy’okutta munnamawulire Robert Kagolo abadde akolera ku Uganda Broadcasting co-operation (UBC) akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo.

Kagolo yaliko Pulezidenti w’ekibiina ekigatta bannamawulire mu Uganda ekya Uganda Journalists Association (UJA).

Kagolo yakubiddwa amasasi agaamutiddewo ku kyalo Bugembejembe mu disitulikiti y’e Wakiso bwe yabadde yakava mu kyalo okuziika muganda we eyafudde ku ntandikwa ya sabiiti eno oluvanyuma lw’okuwambibwa.

Wabula bwe yabadde akomezaawo abaana b’omugenzi mu maka ga kitaabwe, yakubiddwa amasasi agaamutiddewo.

Wabula Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano agamba nti Kagolo yakubiddwa amasasi omukuumi wa LDU.

Owoyesigyire, agamba nti okunoonyereza kulaga nti Kagolo yatomedde ggeeti bwe yabadde ali mu kutya ku bigambibwa nti wabaddewo abali mu kumulondoola.

Oluvanyuma lw’okutomera ggeeti, Poliisi egamba nti wabaddewo okusika omuguwa wakati wa Kagolo n’omukuumi wa LDU era amangu ddala, Kagolo yakubiddwa amasasi era yafiiridde mu ddwaaliro lya ST Joseph Hospital e Waskiso.

Owoyesigyire agamba nti Poliisi ekutte omukuumi wa LDU Mamuli Rashid eyakubye amasasi ne mukwano gwe okuyambako mu kunoonyereza.