Abantu 4 babutikiddwa amayinja ssaako n’ettaka mu kirombe ky’amayinja e Bukasa mu Konsituwense y’e Makindye East era bonna kati z’embuyaga ezikunta.

Tulakita esobodde okugyayo emirambo era amangu ddala, gitwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaaliro ekkulu e Mulago okwekebejjebwa.

Akabenje, kabaddewo ku ssaawa nga 7 ku 8 ez’emisana era abakozi abafudde, babadde ku mirimu gyabwe egy’okwasa amayinja.

Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano agamba nti Poliisi y’e Kabalagala etandiise okunoonyereza.

Owoyesigyire alabudde abalombe okwesonyiwa ekirombe mu kiseera kino kuba kiri mu mbeera mbi era singa balemerako, abantu abalala bayinza okufa.
Poliisi egamba nti abafudde kuliko Mugisha Alias Salongo myaka 40, Ainebyona Justus 20,  Prosper ne Kevin nga bonna batuuze b’e Bukasa