Poliisi y’e Kireka etandiise okunoonyereza ekivuddeko akabenje, emmotoka y’amaggye ekika kya Land cruiser (H4DF2180) bweyingiridde eggaali y’omukka mu bitundu bye Bweyogerere – Kinawattaka mu Monicipaali y’e Kira, kiro mita ntono ddala okuva mu kibuga ekikulu Kampala.

Okusinzira ku batuuze, akabenje kavudde ku mmotoka, bannamaggye okulaga eryannyi ne bagaana okuyimirira mu kiseera ng’eggaali y’omukka eyitawo.

Kigambibwa, emmotoka y’amaggye ebadde eriko owa bodaboda gw’etomedde abadde aweese omukyala e Bweyogerere, ne badduka olw’okutya abatuuze okubagajambula.

Nga badduka, bagudde mu ggaali y’omukka ebadde etwala abasaabaze mu Kampala, emmotoka ne bagigoya.

Wabula abatuuze bavudde mu mbeera nga balumiriza bannamaggye abazze okutaasa abantu baabwe, okubayisaamu kibooko ate nga nabo bazze kuyamba, okutaasa abantu okufa.

Abatuuze

Wabula amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Asp Luke Owoyesigyire agambye nti bannamaggye babiri (2) abali ku ddaala lya ‘Private’, bagiddwawo nga bali mu mbeera mbi era batwaliddwa mu ddwaaliro okutaasa obulamu.

Poliisi egamba nti mu kiseera kino embeera ezzeemu okutambula obulungi era okunoonyereza ku kivuddeko akabenje, kutandikiddewo.