Poliisi y’e Buwenge ekutte Taata ku misango gy’okusobya ku mwana we myaka 7.

Taata Wekolere Stephen myaka 41 omutuuze ku kyalo Mpumwile – Kyebando mu Tawuni Kanso y’e Namagela mu disitulikiti y’e Jinja yakwattiddwa.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu Kira, James Mubi, Wekolere abadde yegaana omusango era abadde alumiriza omwana wa muganda we Peter Nabende myaka 22 okusobya ku mwana we.

Mubi agamba nti oluvanyuma lw’okunoonyereza, kizuuliddwa nti taata Wekolere yabadde yenyigidde mu kusobya ku mwana we.

Mubi era agamba nti n’omuvubuka Peter Nabende naye akwattiddwa era atwaliddwa ku kitebe kya Poliisi e Buwenge, okuyambako Poliisi mu kunoonyereza.

Omwana akebeddwa nga yenna alumwa mu bitundu bye kyama era abatuuze bagamba nti omwana abadde atambula ali mu bulumi.

Oluvanyuma lw’okutegeera nti kitaawe Wekolere abadde amusobyako, omusango gwatwaliddwa ku Poliisi y’e Butagaya era amangu ddala Wekolere yakwattiddwa.