Kyaddaki omuyimbi Rema Namakula azaalidde bba Dr. Hamzah Ssebunya omwana oluvanyuma lwe bbanga nga banoonya.
Kigambibwa azadde mwana muwala nga bakyali mu ddwaaliro.

Rema yayanjula bba Dr. Hazmah mu bazadde e Nabbingo ku lwa Masaka mu 2019 era okuva olwo, bangi ku bawagizi be babadde babanja omwana.

Hamzah ng’alaba ku mwana

Rema agamba nti alina emyaka 30 era abadde alina omwana omu (1) gwe yazaala mu Eddy Kenzo.

Oluvanyuma lw’okwawukana ne Kenzo mu 2019, abadde abeera n’omwana wa Kenzo, Aamal Musuuza myaka 6 era agamba nti bba Dr. Hazmah abadde ayagala Aamal ng’omwana we.

Lindirira ebisingawo ku nsonga za Rema okuzaalira bba omwana………..