Poliisi y’e Kisoro ekutte omukyala munnansi wa Rwanda myaka 25 ku misango gy’okusiiga abaana siriimu abasukka 30.

Dinna Nyirantezimana nga mutuuze ku kyalo Nyange yakwattiddwa era kabuze kata okuttibwa abatuuze.

Kigambibwa abadde alina omudaala kwalengera akaboozi ku kyalo Russia mu Monicipaali y’e Kisoro era mu kiseera kino eky’okulwanyisa Covid-19, bangi ku baana abato, babadde beyongedde okugula abakyala abasamba ogw’ensimbi.

Nyirantezimana agamba nti abadde alina okunoonya ssente, era wadde mulwadde wa siriimu, abadde yakabaka n’abalenzi wakati w’emyaka 15 kwa 20, abasukka 30 nga basasula wakati shs 3,000 – 10,000 okusinzira ku biseera ne ssaawa.

Omu ku baana myaka 15 yakebeddwa nga mulwadde wa siriimu, ekyatabudde abatuuze, okulumba Nyirantezimana era wakati nga bamutimpula emiggo ne nsambaggere, yataasiddwa Poliisi.

Mu kiseera kino ali ku kitebe kya Poliisi e Kisoro ku misango gy’okusobya ku baana abato n’okubasiiga obulwadde.

Poliisi mu disitulikiti y’e Kamwenge etandiise okunoonyereza engeri omukyala myaka 48 gye yattiddwa oluvanyuma lw’okusobezebwako.
Omugenzi ye Medius Ayebare, abadde mukyala wa Fulgence Beyanga omutuuze ku kyalo Nyanchwamba1 cell mu Tawuni Kanso y’e Kamwenge mu disitulikiti y’e Kamwenge.
Kigambibwa nga 6, November, 2021, omugenzi yava awaka okugenda ku mulimu mu nimiro y’omu ku batuuze era bwe yava mu nimiro yagenda mu katawuni k’e Nyanchwamba okunywa ku mwenge.
Ng’ali mu bbaala, waliwo okulwanagana wakati we n’omu ku batuuze Kiconco.
Wabula nga 7, November, 2021, omukyala yazuuliddwa nga mufu mu lusuku lw’amatooke oluvanyuma lw’okusobezebwako.
Mu kiseera kino omulambo gw’omukyala guli ku ddwaaliro e Rukunyu ate abantu babiri (2) bakwattiddwa okuyambako Poliisi mu kunoonyereza.