Omuyimbi Gravity Omutujju alaze nti ddala ye ssaawa abantu okuddamu okulya obulamu n’okusasaanya ku ssente zaabwe.

Akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Ssande, Gravity yakyankalanyiza abadigize mu kivvulu kya Therefore Etteta Concert ku Jahazi Pier Munyonyo.

Gravity wadde musajja alina talenti, oluyimba lwe Tusimbudde, lwakyamudde abadigize.

Mu luyimba, Tusimbudde agamba nti, “Bamaze zi Hasstle Tugende, balina gachehu bawunde ntalo n’enyombo biwedde, Break down anti nayo etubidde mpitila Jeniffer ne Caro bagambe ntino ndi solo, Teri kunsasuzanga Musolo, eyali andobesa yasalada ensalo, Tusimbudde, Tusimbudde, Tusimbudde, abatubanja basanze tusimuse”.

Wuuno alina ennene

Mu luyimba era Gravity agamba nti, “ani alina ennene aweko mune buli omu buli afune emputa, eno size nga nnene erina omuwuula gulinga ffene emputa, Ka njikalange kalange male nji bobonge bobonge enkumbi n’omuyini tuwange, ebimyufu ne bya yellow bibonge”.

Ku siteegi, Gravity yaleese omukyala omunene, enduulu kwekusanikira ekifo kyonna.

Ow’ennene ku siteegi

Ekivvulu kyategekeddwa laadiyo 100.2 Galaxy FM era kyabaddeko abayimbi bangi nnyo omuli Sheebah Kalungi, Fik Fameica, Lydia Jazmine, Martha Mukisa, Vyper Ranking, Kapa, Feffe Bussi, Liam Voice, John Blaq, Karole Kasita, Daddy Andrew, Zex Bilangilangi, Mudra, n’abalala bangi.

Sheebah Kalungi

Ku Jahazi Pier, abadigize bazze mu bungi ddala okuva mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo era ebyokwerinda byabadde gulugulu, okutangira omuntu yenna ayinza okutabangula embeera.

Sheebah Kalungi ng’omukyala omu ku bakwatiridde ekisaawe ky’okuyimba, yakubye omuziki era Jahazi Pier yawuumye kuba ddala Sheebah alina talenti.

Abadigize bawangudde ebirabo ebyenjawulo omuli T-Shirt.

Mu kivvulu, Mr Henry, omukozi ku 100.2 Galaxy FM mu Pulogulamu ya Mid Morning Tukoone yasobodde okweyambisa ekivvulu, okulaga ensi mukyala we Prima Kardash.
Prima yali mukyala w’omuyimbi Geosteady nga balina abaana.

Mr Henry ne Prima


Ku kivvulu, Mr Henry yawakanyiza eby’okubba mukyala wa Geosteady.
Ng’ali ku siteegi, Mr. Henry yagambye nti tewali ngeri yonna gy’osobola okubba omuntu omukulu.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=b-Ri89oSqI0&t=9064s