Poliisi ya Kampala Mukadde eri mu kunoonya abatemu, abenyigidde mu kutta Kasawuli Yowasi, abadde omutuuze we Namugoona Zone 1 mu divizoni y’e Rubaga mu Kampala.

Abatemu era benyigidde mu kubba Sematimba Geoffrey 33 ne Mwebaze Geoffrey 34 ssaako n’okubatematema nga bakozesa ejjambiya.

Abatuuze baalumbiddwa nga busasaana olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga nga, April, 2022 e Namungona.

Abatuuze nga bali mu ddwaaliro mu kiseera kino, ababbi babatwalidde ebintu byabwe omuli ssente ezitamanyiddwa muwendo ssaako n’amassimu wabula ekyembi Yowasi yafudde.

ASP Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agamba nti Poliisi eyungudde basajja baayo okunoonya abatemu.

Owoyesigyire awanjagidde abatuuze okusigala nga bakakamu nnyo kuba kati ensonga Poliisi ezikwasizza maanyi.

Ate Poliisi y’e Rubanda etandiise okunoonyereza ku kyaviriddeko omusajja myaka 50 okufa.

Omugenzi y’e Musinguzi Amos, abadde mutuuze we Murukoro mu ggoombolola y’e Muko mu disitulikiti y’e Rubanda.

Kigambibwa nga 1, April, 2022 ku ssaawa 12 ez’akawungeezi, Amos yavudde awaka okugenda mu katawuni k’e Mukempunu okwegatta ku banne okunywa omwenge.

Poliisi egamba nti Amos baakoma okumulabako mu bbaala ya Constance ku ssaawa nga 10 ez’ekiro.

Ku ssaawa 11 ez’okumakya, Amos yazuulibwa okumpi ne bbaala nga yalina ebiwundu ku mutwe era amangu ddala omu ku batuuze ategerekeseeko erya Achileo, yakubira mukyala we essimu.

Amos yatwalibwa mu ddwaaliro lya Church of Uganda Health centre II okufuna obujanjabi kyokka amangu ddala nga bakatuuka mu ddwaaliro, omusawo yabategeeza nti yali afudde.

Amangu ddala, mukyala w’omugenzi Macklin Kamashara yatwala omusango gwa bba okuttibwa ku Poliisi y’e Muko.

Abasirikale nga bakulembeddwamu Asp Wamunga Fred, akulira Poliisi y’e Muko, mu kunoonyereza kwabwe, bagyeeko sitatimenti  ku bantu abenjawulo n’okusaba eddwaaliro alipoota ku kyavuddeko omugenzi okufa.

Okusinzira ku Elly Maate, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi, Poliisi ekutte abantu munaana (8) okuyambako mu kunoonyereza.

Abakwate kuliko

1- Constance Kyomuhangi,

2 – Rosette Busingye, both own bars,

3 – Lilian Girokwikiriza,

4 – Achileo Turyamushanga,

5 – Romineti Kiconco,

6 – Sofia Mbarushimana,

7 – Godfrey Mubangizi and,

8 – James Bataringaya