Poliisi ekutte James Miiro ku misango gy’okutta Ronald Mutebi myaka 45, abadde omutuuze mu katawuni k’e Wabusana mu ggoombolola y’e Kikyusa mu disitulikiti y’e Luweero.

Okusinzira ku ssentebe w’ekyalo Robert Wasswa, akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Mmande, Mutebi yafunye obutakaanya ne Miiro nga bali mu bbaala emanyikiddwa nga Maaso.

Obutakaanya, byavuddeko Miiro okuba Mutebi, omuggo ku mutwe era yagudde wansi, ng’ali mu mbeera mbi.

Ssentebe Wasswa agamba nti Mutebi yafudde bakamutuusa mu ddwaaliro lya Wabusana Health Center III, ekyalese abatuuze nga bali mu kiyongobero.

Wabula Isah Ssemwogerere, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Savannah omuli Luweero, agambye nti Miiro akwattiddwa era atwaliddwa ku Poliisi mu Tawuni Kanso y’e Kikyusa.

Ate omulambo gusindikiddwa mu ddwaaliro ekkulu e Luweero okwekebejjebwa nga ne Christine Nalugo, nannyini bbaala, aliira ku nsiko mu kiseera kino olw’okutya nti essaawa yonna, Poliisi eyinza okumukwata.

Ate Poliisi eri mu kunoonya omwana ku misango gy’okutta omusajja olw’okwagala nnyina.

Alex Gumoshabe abadde mu gy’obukulu 40 yattiddwa ng’abadde mutuuze ku kyalo  Rwakiriba mu ggoombolola y’e Bugangari mu disitulikiti y’e Rukungiri.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo, Elly Maate, Gumoshabe abadde mu laavu n’omukyala Emily Kyomugisha olwa bba Julius Katurebe okufa nga tumalako omwaka oguwedde ogwa 2021.

Kigambibwa, akawungeezi k’olunnaku Olwokutaano nga 15, April, 2022, omukyala yaleese omusajja mu nnyumba era wakati mu kusinda omukwano, omutabani Tofaayo Turinawe yawulidde obusungu olwa nnyina okudda mu kwesa empiki mu nnyumba ya kitaawe.

Maama olw’asuddemu, amaloboozi agatambuza omukwano n’okususuuta omusajja nti alina ‘Work’, omwana Turinawe yakutte omuggo, okuyimiriza ebigenda mu maaso era nnyina yasobodde okudduka ate omusajja Gumoshabe eyabdde mu ssanyu, yakubiddwa emiggo nga yasigadde ali mu mbeera mbi.

Omusajja Gumoshabe yafudde ku Lwomukaaga nga 16, April, 2022 nga bakamutuusa mu ddwaaliro erya Karoli Lwanga.

Olw’obusungu, abatuuze benyigidde mu kutwalira amateeka mu ngalo, ennyumba ne bagikoona.

Poliisi egamba nti omwana aliira ku nsiko mu kiseera kino era egumizza abatuuze ku nsonga y’okumunoonya.