Omusuubuzi Shaban Malore abadde omugundivu mu bitundu bye Jinja attiddwa, akubiddwa amasasi agamuttiddewo mu kiro ekikeseza olwa leero ku Ssande.

Malore kigambibwa attiddwa abasajja abali ku Pikipiki era abadde yakatuuka awaka ku kyalo Buweera mu ggoombolola y’e Buwenge ku ssaawa nga 3 ez’ekiro.

Kigambibwa abasajja babiri (2) nga bali ku Pikipiki, baalumbye Malore ne bamukuba amasasi.

Omulambo gwe gutwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Jinja okwekebejjebwa.

Aba famire bagamba nti Malore nga tannatibwa, abatemu basoose kumuyita linnya oluvanyuma ne bamukuba amasasi mu kifuba.

Kigambibwa omugenzi Malore abadde alina obutakaanya ku ttaka ne famire ye, amayumba ga bapangisa, emmotoka, emyaka egisukka mu 17 oluvanyuma lwa kitaawe Suleiman Malore okufa mu 2006.

Ettaka n’ebizimbe ebirudde nga biriko enkayana biri ku kyalo Kituuba mu ggoombolola y’e Kasozi mu disitulikiti y’e Kamuli era kigambibwa emisango giri mu kkooti.

Wabula James Mubi, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Busoga East, agamba nti Poliisi etandiise okunoonyereza okuzuula abatemu.