Essanyu libuutikidde bannansi b’eggwanga erya Kenya William Ruto bw’alangiriddwa nti alondeddwa ng’omukulembeze w’eggwanga lyabwe.

Okusinzira ku birangiriddwa ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda, Wafula Chebukati, Ruto awangudde n’obululu 7,176,141  nga bukola ebitundu 50.49 ku 100.

Ruto asobodde okumegga abantu basatu (3), okulondebwa nga Pulezidenti w’e Kenya Owokutaano (5).

Odinga amalidde mu kyakubiri ng’afunye obululu 6,942,930 nga bukola ebitundu 48.5 ku 100.

Abalala okuli George Wajackoyah amalidde mu kyakusatu ng’afunye obululu 61, 969 nga bukola obutundutundu 44 ku 100 ate David Mwaure yakwebedde mu Kyokuna ng’afunye obululu 31, 927 nga bukola obutundutundu 23 ku 100.