Essanyu libugaanye abawagizi ba William Ruto, kkooti ensukkulumu bw’egobye emisango gy’abaddukira mu kkooti nga bawakanya obuwanguzi bwa Ruto ku bukulembeze bw’eggwanga lyabwe.

Abalamuzi musanvu (7) nga bakulembeddwamu Ssaabalamuzi Martha Koome, bakaanyiza ku nsonga 9 kwe basinzidde okuwa ensala yaabwe.

Abalamuzi era bakaanyiza nti ddala Ruto, yaweza ebintu 50 n’akalulu 1 ku 100, era ddala yalondebwa ng’omukulembeze w’eggwanga lya Kenya ow’okutaano (5) mu kulonda kwa 9, August, 2022.

Mu kkooti, ebadde esiriikiridde, mu kiwandiiko ekyawamu ekisomeddwa Ssaabalamuzi Koome, bonna abalamuzi 7 bakaanyiza nti ddala Ruto yaweza ebintu ebyetagisa okulembera eggwanga lya Kenya era ye Pulezidenti Omulonde.

Koome alangiridde

Ensonga endala kwebasinzidde okugoba emisango kuliko

– Kkooti ewakanyiza ebigambibwa nti tekinologye eyakozesebwa mu kiseera ky’okulonda teyali ku mutindo, okusobozesa abalonzi mu ggwanga lya Kenya okufuna okulonda okw’amazima n’obwenkanya.

– Kkooti era egambye nti tewali bujjulizi bulaga nti waliwo enkyukakyuka mu ffoomu 34A okuli ezo ezaweebwa ba Agenti oluvanyuma lw’okulonda.

 – Abalamuzi bonna era bawakanyiza ebigambibwa nti okwongezaayo okulonda mu bitundu okuli Kakamega ne Mombasa mu kulonda omubaka wa Palamenti mu bitundu bye Pokot South, Kitui Rural n’ebirala nga kyava ku nsobi ezaali ku bukonge, nti kirina engeri yonna, gye kyalemesa abalonzi okujjumbira okulonda.

 – Mungeri y’emu kkooti egambye nti akakiiko k’ebyokulonda, kaakola omulimu gwaako, okwekeneenya entekateeka zonna ez’okulonda, okuva ku ntandikwa, okutuusa okulangirira.

– Ku bigambibwa nti ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Wafula Chebukati yalangirira omuwanguzi nga tewali kugoberera mateeka era mbu yali nakyemalira, kkooti egambye nti oludda oluwaabi, lulemeddwa okuleeta obujjulizi.

Mu ngeri y’emu kkooti egambye nti ne Bakaminsona 4 nga bakulembeddwamu amyuka ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Juliana Cherera  okuwakanya ebyalangirirwa, baali mu kwekaza nga baali mu ntekateeka zonna wabula ne baawukana mu ssaawa z’okulangirira.

Kkooti era egambye nti Bakaminsona nga bakulembeddwamu Cherera,  baalemeddwa okuleeta obujjulizi bwonna mu kkooti, obulaga nti ebyalangirirwa, byalimu ensobi.

Ezo zezimu ku nsonga, abalamuzi kwebasinzidde okugoba emisango gyonna n’okulagira buli ludda okwesasulira ssente zebakozeseza mu musango.

Mu kulonda kwa 9, August, 2022, Chebukati, yalangirira Ruto ng’omukulembeze we Kenya ow’okutaano (5) okudda mu bigere bya Uhuru Kenyatta.

Ebyava mu kulonda, Ruto yafuna obululu 7,176,141 nga bukola ebitundu 50.49 ku 100.

Railo Odinga yamalira mu kyakubiri nga yafuna obululu 6,942,930 nga bukola ebitundu 48.5 ku 100.

Abalala okuli George Wajackoyah yamalira mu kyakusatu obululu 61, 969 nga bukola obutundutundu 44 ku 100 ate David Mwaure yakwata kyakuna n’ obululu 31, 927 nga bukola obutundutundu 23 ku 100.

Odinga myaka 77 avuganyiza ku bwa Pulezidenti bwa Kenya emirundi 5 nga tawangula, akabonero akalaga nti ayinza okuba talina mukisa.

Mu 1997 yakwata kyakusatu nga yali akulembeddemu ekibiina ki National Development Party.

Mu 2007, 2013, 2017 ne 2022 abadde akwata kyakubiri era ensonga zibadde zigwera mu kkooti.

Ku mulundi guno Kenyatta abadde awagira Odinga wabula bonna mu kiseera kino basobeddwa.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=rDCuiYEq2hM