Omuyimbi Aziz Azion ayongedde okulaga nti ddala musajja alina omukwano era y’emu ku nsonga lwaki mu Uganda, y’omu ku bayimbi abalina ennyimba z’omukwano.
Abantu bangi bali mu mukwano olw’ennyimba za Aziz Azion omuli Nkumira Omukwano, Oli Omu, Sweeta Wakati, Pain Killer, Oxygen, Beera Nange, Birungo n’endala.

Aziz musajja wa mukwano


Ng’omuntu omulala yenna, Aziz naye muntu era naye alina omukwano nga y’emu ku nsonga lwaki ategeera ensonga ezitambuza laavu mu nnyimba ze.

Okusinzira ku vidiyo eri mu kutambula ku mikutu migatta bantu, ekyana kiwadde Aziz kkiisi mu ngeri y’okulaga nti ddala waliwo omukwano.
Ekyana mbu kiyitibwa Nana Tebby kikutte essimu ne kikwata vidiyo, okulaga ensi nti ddala nakyo kitegeera omukwano.
Mu vidiyo, kituukidde ku mimwa gya Aziz okunywegera, okulaga nti omusajja amulina.

Vidiyo!