Mu nsi y’omukwano, ebintu bingi ebiyinza okuwa omukyala essanyu mu nsonga z’omu kisenge n’okwesunga akaboozi singa afuna omusajja omutuufu.

Okunoonyereza kulaga nti abasajja abamu obutamanya, y’emu ku nsonga lwaki omukyala ayinza okwenda oba okwetamwa akaboozi.

Abakugu mu nsonga z’omukwano, bakoze okunoonyereza ku bintu ebiyinza okuwa omukyala essanyu mu kwegatta n’okulowooza ku mukwano obudde bwonna.

1 – Okusoma embeera mu kiseera ky’akaboozi!

Abakyala bamu bayinza okutya okuvaamu ekigambo nga bali mu kaboozi ne basalawo okweyambisa obubonero. Omukyala yenna ayagala nnyo omusajja ayinza okusoma obubonero kuba buyamba nnyo okuwuliziganya wakati mu kusinda omukwano. Omukyala yenna asobola okweyambisa omubiri, engalo ng’aliko byagamba omusajja.

Abakugu bagamba nti omusajja yenna alina okusoma obubonero by’omukyala.

2 – Okutekateeka omukyala!

Wadde abasajja abamu balowooza kaboozi kyokka, buli mukyala ayagala nnyo omusajja ayinza okutekateeka omukyala nga bagenda mu kusinda omukwano. Okutekateeka omukyala kiyamba nnyo okunyumirwa omukwano.

3 – Ebigambo by’obuseegu mu kisenge!

Waliwo abakyala abamu abanyumirwa okweyambisa ebigambo by’obuseegu nga bali mu kikolwa. Abakyala abamu singa omusajja akozesa ebigambo by’obuseegu nga bali mu kikolwa, kiyamba omukyala okufuna mmuudu z’okwegatta.

4 – Okumutendereza!

Buli mukyala yenna, ayagala nnyo okumuwaana mu kiseera ky’akaboozi. Okuwaana omukyala ebitundu eby’enjawulo mu kisenge, kimuteeka mangu mu mmuudu.

5 – Okutuuka ku ntikko!

Omukyala yenna singa atuuka ku ntikko, kimuwa essanyu n’okwagala okudda okwegata. Okunoonyereza kulaga nti ebitundu 70 ku 100, omukyala ayinza okulemwa okutuuka ku ntikko nga kivudde ku nneyisa y’omusajja.

6 – Okuleeta ekipya mu kaboozi!

Omusajja yenna alina okuba omuyiiya mu nsonga z’omu kisenge. Abakugu bagamba nti omukyala yenna ayagala nnyo omusajja ng’alina sitayiro ez’enjawulo mu kaboozi. Singa omukyala afuna sitayiro ez’enjawulo mu kaboozi, anyumirwa omuzannyo n’okwesunga okusinda omukwano.

7 – Omuntu amufaako!

Singa omusajja alaga omukyala nti amufaako, kiyinza okwongera okumuteeka mu mmuudu z’okwegata. Abakugu bagamba nti omukyala ayagala nnyo omusajja alaga nti amwagala obudde bwonna. Okwagala omukyala, y’emu ku mpagi ezitambuza omukwano.