Omusajja aguddewo ekigwo, oluvanyuma lw’okukwata mukyala we ng’ali mu kaboozi n’omusiguze.
Omukyala ng’ali mu myaka 28 akiguddeko bw’aleese omusiguze mu nju, mu kisenge kya bba.
Omusajja agamba nti mukyala ategerekeseeko erya Guwei yamukubidde amasimu emirundi egisukka mu 6 nga takwata.
Yabadde alina okuvuga okudda awaka ng’alina ebintu byeyetaaga omuli ‘ATM Card‘.
Okutuuka awaka, ng’abaana bali mu ddiiro, omukyala Guwei ali mu kisenge.
Wabula omusajja okutuuka mu kisenge, ng’omukyala Guwei ali mu kaboozi n’omusiguze, nga yenna atonnya ntuuyo.
Ng’omusajja omulala yenna, ssemaka yawunze kuba abadde ayagala nnyo mukyala we era amangu ddala yazirise.
Omusiguze yasobodde okudduka kyokka omukyala yasigadde asobeddwa ki eky’okuzaako.
Nga wayise eddakika 5 zokka, omukyala yalabiddwako ng’atwala bba mu ddwaaliro wabula tekimanyiddwa oba ddala omusajja singa afuna obujanjabi, ayinza okuwa mukyala we omukisa ogwokubiri.
Embeera eno, yabadde mu kibuga Minneba mu ggwanga erya Ghana.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=RDgTxRJsA6g